Uganda Police Force egamba nti ekikwekweto kyayo ekyokuggya ebyambalo ebyefaananyiriza ebyabebyokwerinda okuli Poliisi n’eggye lya UPDF mu bantu babulijjo byekivuddemu ebibala.
Olunaku olwaleero ebyambalo eby’enjawulo bireeteddwa ku kitebe kya Poliisi e Naggulu nga bikuŋŋanyiziddwa okuva mu bavubuka ababeera mugotteko. Kinajukirwa nti Poliisi yawa abantu ababirina ebbanga lya wiiki bbiri nga babiwaddeyo.