Inspector General wa Police John Martins Okoth Ochola olunaku olwaleero akungubagidde omugenzi CP Okello Wilfred Makmot eyafiiridde ku nnyonyi nga ava e Dubai nga July 8, 2018.
Agambye nti Poliisi yonna ekungubaga olw’okuviibwako omuntu ow’omugaso ennyo bwatyo bino byonna abyogeredde mukusabira omwoyo gw’omugenzi ku All Saints Cathedral e Nakasero
Director Police Health Services, Dr. Moses Byaruhanga yagambye nti Omugenzi yafudde lwamawuggwe kulemererwa kussa. Yayongedde nagamba nti tewali buzibu bwebasanze ku mugenzi wabula bazudde nti omugenzi yalina Blood clot mu mawuggwe ekyaletera emisuwa okuziba nga takyasobola kussa.
Ebyafaayo bye;
Yegatta ku Poliisi nga 1-Feb-1987 nga Cadet Assistant Superintendent wa Police natandika okutendekebwa e Naguru Police College namaliriza mu November 1987, nasindikibwa e Luwero Police Station nga Officer in charge, nga 16/04/1991, yakuzibwa n’afuuka Assistant Superintendent of Police.
Nga 14- August – 2001, yakuzibwa n’afuuka Superintendent of Police
Nga 11 February 2004, yakuzibwa n’afuuka Senior Superintendent of Police.
Nga 4-Feb-2009 yakuzibwa n’afuuka Commissioner okutuusa wafiiridde.
Mu 2010 yawumula okuva mu Poliisi n’agenda mu by’obufuzi wabula nazzibwa ku contract mu 2013 okutuusa wafiiridde.
Makmot yakolako bga OC Station Luwero, Entebbe Airport Commandant Airport Security, Bombo Police nga OC station, Nsambya Barracks nga OC Discipline, Kotido nga OC CID, Kapchorwa nga OC CID, Kumi nga OC CID, CID Headquarters ku Homicide Desk Officer, CPS Kampala nga OC Anti Robbery Squad, Bushenyi nga DPC, Luwero nga DPC, Katwe nga DPC, North West Nile Region nga RPC, Anti Stock Theft Unit nga Commandant, Police headquarters nga Commissioner Private Security, nga wafiiridde abadde Coordinator National Focal Point and Small Arms mu Ministry ya Internal Affairs ku Headquarters.