Poliisi mu Arua ekutte abantu 5 kubikwatagana n’okubulawo kw’emotoka agafemulago eyali ey’eddwaliro lya Arua Regional Referral Hospital. Emotoka eno ekika kya Toyota Land Cruiser nnamba UG 6812M yabuzibwawo okuva mu ppakingi y’eddwaliro ku lwomukaaga nga 27 March, 2021, wabula okubula kwayo kwamanyika nga wayiseewo enaku 2 ku bbalaza oluvannyuma lwa RCC wa Arua Martin Oroch okugisaba okutwala abasirikale abaali bayamba Uganda Revenue Authority (URA) okukwasisa amateeka okukubwa abantu mu Ayivu East mu ddwaliro lya Arua.
Emotoka eno eyali empya nga ebalirirwamu obukadde obusukka mu 300 yaweebwa eddwaliro lya Arua okuva mu Ministry of Health okuyamba okutambuza abafuna obubenje nga yali yakamalawo emyezi nga 5 nebbibwa.
Abasirikale abakuuma eddwaliro 3 abakola ekiro eky’olwomukaaga ne ku Sunday emotoka eno lyeyabuzibwawo bakwatibwa nebavunaanibwa okusuulirira emirimu gyabwe.
Ku weekend eno Poliisi yakutte abantu abalala 5 wabula nga amannya gaabwe gasirikiddwa Poliisi, Jude Nasucha, Commandant Arua Central Police Station eyalagidde bano okukwatibwa yagambye nti singa bagoogera kiyinza okutaataganya okunoonyereza.
Wabula okusinziira ku URN bagamba nti abakwatiddwa kuliko; Dr Dennis Ocatre, Head, Dental Health Department, nabakozi abalala okuva mu Department yemu okuli Alex ne Philliam. Abalala ye Mukuumi wamu ne Ddereeva w’emotoka eno.
Nasucha agamba nti bakoze okunooyereza okumala nga tebanakwata bano abataano abakirizza omusango.
Okusinziira ku URN egamba nti bano bakirizza okubba emotoka eno nebategeeza nti ekyabakozesa kino babagamba nti Gavumenti yali egenda kukyuuka mu May ng’okulonda kuwedde nebasalawo okwefunira ensimbi ezamangu ezinabasobozesa okubeera mu buwanganguse.