Poliisi ekutte 5 kubyokuttibwa kwomusomesa

Omwogezi wa Kampala Metropolitan Police Patrick Onyango avuddeyo nategeeza nga Poliisi e Mukono bwekutte abantu 5 kubyekuusa ku kutemulwa kwa Oloya Ivan, 30 omusomesa ku Sseeta High School – Mbalala Campus.
Oloya yattiddwa nga 22 – March – 2025 mu Bajjo Cell, Nyenje Ward, Goma Division.
Abakwatiddwa kuliko;
– *Kasumba Paul*, 21, a casual worker
– *Mabale Simon*, 23, a casual worker
– *Kibuuka Tom*, 38, a mechanic
– *Lukodda Simon*, 18, a casual worker
– *Kandoole Charles Dani*, 16, a casual worker
Okusinziira ku kunoonyereza, Oloya yava ku mulimu ku Sseeta High School, Mbalala Campus, nayolekera okudda awa e Bajjo, ono yalumbibwa abantu abamutta okuliraana ggeeti ya Code High School, mukyala we, Abbey Mercy, gyasomesa.
Poliisi yaleese embwa enkongalusu eyayambye okukwata bano 5. Omulambo gwatwaliddwa mu ggwanika e Mulago.
Leave a Reply