Uganda Police Force mu ttunduttundu ly’e Naggalama enunudde abantu 51 okuva mu bantu abateberezebwa okukusa abantu. Poliisi yatemezeddwako nti waliwo abantu abaferebwa okubafunira emirimu mu AIM GLOBAL ALLIANCE, ettabi ery’e Naggalama.
Kigambibwa nti abantu bano babadde buli omu aggibwako emitwalo 15 nga kigambibwa nti zino zakubatendeka. Oluvannyuma babaggyako essimu zaabwe olwo nebatandika okukubira mikwano gyabwe okubegattako wamu n’okukubira abeŋŋanda zaabwe okusasula akakadde 1 n’ekitundu okugula ebintu byebagenda okutunda okufuna ssente.
Bano babasuubizi nti mu maaso eyo bagenda kuba nga bafuna akakadde 1 okusinziira ku bantu bayingizza wamu nebyotunze.
Ekikwekweto kyakoleddwa mu bitundu bya Kalagi ebyenjawulo okuli: Kakoola, Kyabakadde parish, Kyampisi sub-county, Mukono: abantu 14 okuli abakyala 11 gyebasangiddwa nga basula mu muzigo gwegumu. E Kalagi, Naggalama A ward , Nakifuma Naggalama town council Mukono: Abantu 20 okuli; abasajja 10 n’abakyala 10 basangiddwa nga basula mu kazigo kamu.
Ku kyalo Bbosa, Kyabakadde parish, abantu 14 okuli; abasajja 6 n’abakyala 8 basangiddwa nabo mu muzigo gumu nga kigambibwa nti bano bonna babadde bakuŋŋanyizibwa Kasule Zephaniah ne Nantima Evelyn, abakwatiddwa nga bakuumirwa ku Poliisi e Naggalama.
#ffemmwemmweffe
Poliisi ekutte aba Aim Global Alliance e Naggalama
