Uganda Police Force ye Wandegeya ekoze ekikwekweto mwekwatidde abantu 35 nga bano kigambibwa nti babaddebefuula ba makanika mu bitundu by’e Kagugube nebaggya ssente ku bantu, n’okubba ebintu ku motoka eziba zireeteddwa okukanikwa. Poliisi egamba nti ekikwekweto kikyagenda mu maaso.