Poliisi ya Kira Road yakoze ekikwekweto olunaku lw’eggulo okuteekesa ebiragiro bya Ministry of Health- Uganda ebyokulwanyisa ekirwadde kya #COVID-19 mu nkola ku ssaawa ssatu ez’ekiro e Ntinda n’e Kiwatule oluvannyuma lw’okufuna okwemulugunya okuva mu mawulire nti waliwo abantu abakunganira mu Apartment ezisangibwa ku kyalo Balintuma okuliraana oluguudo lwa Firidina nebanywa omwenge nga bwebakuba ennyimba nga baleekanyiza balirwana ekimenya ebiragiro bya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni.
Abasirikale ba Uganda Police Force basobodde okukwata abantu 7 abalala nebadduka nga balabye Poliisi. Bano bakuumirwa ku Poliisi ya Kira Road era nga baguddwako emisango okuli okujeemera ebiragiro ebiriwo mu mateeka, wamu n’okukola ekikolwa ekiyinza okuviirako okusaasanya ekirwadde ekikambwe.
Mu ngeri yemu Poliisi y’e Kabalagala yakoze ekikwekweto e Bbunga ku Nomads Bar gyeyakwatiddwa abantu 49 omuli ne nannyini bbaala Fred Kamau n’abaddukanya ebbaala 8 nga bakuumirwa ku Poliisi y’e Kabalagala.