Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nga Poliisi e Kawempe bweyakutte ekibinja kyabantu abagambibwa okuba nga babadde benyigira mu kubba piki piiki ku kyalo Lugoba mu Kawempe Division. Ekikwekweto kyakoleddwa oluvannyuma lwokutemezebwako abantu abesigika.
Abakwatiddwa bategeerekese nga; Mayanja Godfrey, Mukunda Charles, Asiimwe Brian, Katongole Reagan, Tamale Vincent ne Kayemba Elvis nga bano basangiddwa ne Piki piki enzibe nga babadde bateekateeka okuzipangulula batunde ebyuuma byazo.
Poliisi bwe bweyayazizza gyebabeera yasobodde okuzuula ebintu ebiwerako ebibbe omuli; nnamba, side mirrors, wamu nebikwata ennamba za Piki piki. Mayanja Godfrey, eyeyanjudde nga makanika yakwatiddwa okuva mu maka ge e Lugoba gyebasanze nga akukulidde nnamba za piki piki bbiri okuli; UEZ 616M ne UEV 832P, side mirrors 4, nebikwata nnamba za piki piki 2. Mayanja bweyakwatiddwa yatutte Poliisi ewa Mukunda Charles eyakwatiddwa ne piki piki enzibe era ngono yakirizza okubba piki piki ya mukama we bwatyo natwala Poliisi mu kifo kya Ssemakula webakuumira ebidduka awasangiddwa piki piki endala enzibe.
Mukwongera okunoonyereza Poliisi yakutte Asiimwe Brian, eyasangiddwa ne piki piki enzibe nebintu ebirala ebibbe okuli; helmets 4, ebikwatta ennamba 13, side mirrors 6, tracker 2, switch za piki piki 2, omuguwa 1 oguweza mita 7 gwebakozesa mu kubba.
Asiimwe yatutte Poliisi ewa Tamale Vincent, eyabatutte ewa Katongole Reagan, eyabadde abbye piki piki mu Kikoni Makerere. Kayemba Elvis, ngono mukuumi wa nnyumba emu gyebabadde bakweka piki piki ezibiddwa naye yakwatiddwa.
Wabula waliwo omu amanyiddwa nga Mulugwala akyanoonyezibwa.