Poliisi ekutte ababbi b’emotoka e Mukono n’e Masaka

Omwogezi wa Uganda Police Force Fred Enanga avuddeyo nategeeza ng’ekitongole kya Poliisi ekirwanyisa obunyazi obw’emmundu ekya Flying Squad Unit e Masaka ne Mukono, kyakoze ebikwekweto 3 ebyenjawulo ku babbi b’emotoka okukakkana nga emotoka 5 ne piki piki 1 bizuuliddwa wamu ne nnamba z’emotoka eziwerako okuva na bagambibwa okubeera ababbi.
Ababbi 3 abagambibwa okubeera abattabbu bebakwatiddwa mu kikwekweto kino.
E Masaka nga 3/01/2024, Abasirikale okuva ku Poliisi e Bukoto abali bawa abaziisi obukuumi ku kyalo Butale balaba ababa 3 abali bagezaako okunyaga emotoka zabaziisi okukakkana nga bakutte Lukyamuzi Faruku, 28 bulooka w’ettaka e Kyengera mu Wakiso ngono yabatwala ku motoka gyebali batambuliramu. Bwebagikebera bagisangamu ennamba z’emotoka eziwerako nga zikwekeddwa mu mitto. Emotoka mwebali batambulira Toyota Premio ya Grey nnamba UAK762T era yasangibwamu ebyuuma ebikozesebwa okumenya emotoka.
Mu ngeri yemu Flying Squad Unit e Masaka nga 5-01-2024 ku ssaawa ssatu ezookumakya bagoba abaali basuubirwa okubeera ababbi nga batambulira mu motoka ngeriko ennamba enjingirire UBM858N, bagikuba emipiira okuliraana essundiro lya Total ku luguudo lwa Masaka – Kyotera era nebakwata Ddamulira Edward 40, omutuuze w’e Kirumbi Zone, Nateete mu Kampala. Ono yakiriza nti babadde beyambisa master key okubba emotoka mu bifo ebyenjawulo nga woteeri, obutale nezo zebasanga ku nguudo. Ono agamba nti yaggibwa Kyengera banne 2 neboolekera Masaka City, webabakwatira baali bamaze okumenya motoka 2 emu bagisanga Nabyewanga mwebabba ensawo eyalimu engoye n’endala mu ttawuni e Lukaya mwebabba ensawo eyalimu engoye n’essimu ekika kya Infinix. Bano bali bavuga emotoka Canter nga njeru nga bagisibyeeko ennamba engingirire UBM858N nga ennamba yaayo entuufu eri UBA858N.
Mu ngeri yemu Flying Squad e Mukono bakutte Wandera John aka Katiginyi ngono abadde mubbi wa motoka lukulwe ku kyalo Namubiru mu Nama ngono bamusanze atunda emotoka ekika kya canter nga njeru nnamba UBE973W nga eno bagibba ne banne 2 okuva e Nsangi. Banne badduka naye banoonyezebwa okuli; Wasiko Isaac, Patrick Mukyepere, Kanyankole Gideon ne Ivan. Bano emotoka zebabbye babadde baziguza Siraje e Iganga ne Brian e Bwaise era nga nabo banoonyezebwa. Poliisi era yazudde emotoka mamba UBB071U, Piki piki nnamba UFL975H wamu ne Premio Super ngeriko ennamba enjigirire nnamba UAW025L.

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Omwogezi wa Minisitule evunaanyizibwa ku nsonga zomunda mu Ggwanga Simon Mundeyi ategeezezza nti alipoota eyomwaka 2024 ekwatagana ku butwa okuva mu Government Analytical Laboratory e Wandeya, bweyazuula obutwa mu misango 967 nga gyaali gyekuusa ku butwa kwegyo 3,868 egyatwalibwayo wakati wa January - September 2024.
Agamba nti obutwa obusinga bwaddagala erikozesebwa mu byobulimi 42.4%. Nga Disitulikiti ezasinga okukosebwa kuliko; Pallisa, Budaka, Mbale Serere nendala mu bugwanjuba bwa Uganda.
Bya Kamali James 
#ffemmwemmweffe

...

13 0 instagram icon
Kitalo!
Omumyuuka wa Pulezidenti wa National Unity Platform owebugwanjuba Maama Jolly Mugisha afudde. Ono afiiridde mu Ddwaliro lya Mbarara Regional Hospital ngabadde mu conma mu Intensive Care Unit. 

22 2 instagram icon
Ekitongole kya NIRA kyeddizza ogwokuwandiisa wamu n'okugaba Marriage Certificate okuva mu Uganda Registration Services Bureau ebadde ekola omulimu guno.
Bya Kamali James 
#ffemmwemmweffe

Ekitongole kya NIRA kyeddizza ogwokuwandiisa wamu n`okugaba Marriage Certificate okuva mu Uganda Registration Services Bureau ebadde ekola omulimu guno.
Bya Kamali James
#ffemmwemmweffe
...

31 0 instagram icon
Nasser Nduhukire aka Don Naseer asimbiddwa mu maaso g'omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road navunaanibwa omusango gwokukusa abaana nekigendererwa ekyokubakozesa ebikolwa ebyokwegatta. Ono avunaaniddwa ne Promise Gatete olwokutambuza omuwala owemyaka 16 nga bamuggya ku Tagore Apartments ku Accacia Mall nebamukweka e Kito mu Kita okumala enaku 3.
Bano basindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Luzira nga bwebalindirira okusindikibwa mu Kkooti Enkulu kuba omusango gwenavunaanibwa gulina ekibonerezo kyakuttibwa singa guba gubasinze.

Omulamuzi Ronald Kayizzi alagidde bano bakomezebwewo nga 8-October. 
Bya Christina Nabatanzi 
#ffemmwemmweffe

Nasser Nduhukire aka Don Naseer asimbiddwa mu maaso g`omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road navunaanibwa omusango gwokukusa abaana nekigendererwa ekyokubakozesa ebikolwa ebyokwegatta. Ono avunaaniddwa ne Promise Gatete olwokutambuza omuwala owemyaka 16 nga bamuggya ku Tagore Apartments ku Accacia Mall nebamukweka e Kito mu Kita okumala enaku 3.
Bano basindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Luzira nga bwebalindirira okusindikibwa mu Kkooti Enkulu kuba omusango gwenavunaanibwa gulina ekibonerezo kyakuttibwa singa guba gubasinze.

Omulamuzi Ronald Kayizzi alagidde bano bakomezebwewo nga 8-October.
Bya Christina Nabatanzi
#ffemmwemmweffe
...

14 1 instagram icon