Poliisi e Kiboga ekutte abantu 4 kubigambibwa nti benyigidde mu bubbi bw’ente 21. Okusinziira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu by’e Wamala ASP Nobert Ochom agamba nti ababbi bano balumbye amaka ga Namwandu Makuza Edisa omutuuze w’ekyalo Kalokola e Bukomero mu Disitulikiti y’e Kiboga.