Omuyizi asoma obusawo akwatiddwa ngabba ettooke
23 — 10Stanbic etonodde amalwaliro e Nakaseke ebikozesebwa mu bujanjabi
23 — 10Omwogezi wa Kampala Metropolitan Police Patrick Onyango avuddeyo nategeeza nga Poliisi bweyakutte abantu 6 okuli nagambibwa okuluka olukwe lwokutta Aggie eyali Maneja w’essundiro ly’amafuta e Bweyogerere.
Onyango ategeezezza nga abasirikale baayo okuva mu Crime Intelligence wamu nebambega bwebakutte Edward Kaweesa nga kigambibwa nti ono yeyali emabega w’ettemu lino era nga bamukubye essasi mu kugulu bweyabadde agezaako okudduka.
Kaweesa ne banne okuli; Jimmy Serunjogi, Robert Mwanje, Ali Muteesa, Juma Busulwa, ne Mugambe Pius, bakwatibwa ku bbalaza okuva mu Dube parking yard.
Abalala 5 okukwatibwa kyaddiridde Poliisi okwetegeereza essimu ya Kaweesa. Poliisi era yazudde piki piki nnamba UFQ 934K ne UFB 788Z wamu ne layini z’amasimu 174 ezemikutu egyenjawulo nga kigambibwa zino zandiba nga zabantu bebba oba bebattemula.
Bya Kamali James