Poliisi ekutte abantu 7 olw’ettemu

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kunoonyereza ku buzzi bw’emisango ekya Directorate of Crime Intelligence kyakoze ekikwekweto oluvannyuma lw’okutemezebwako nekikwata abantu 7 abagambibwa okuba nga benyigira ttemu lya Lubinga Henry wamu n’obubbi mwebabbira obukadde bubiri n’ekitundu okuva ku Sam Kasule, 25 omusuubuzi w’e Nakiwaya LC1 mu muluka gw’e Nakiwaya mu Kikandwa.Nga 28-02-2020 ku ssaawa bbiri n’eddakiika kumi ez’ekiro nga babagalidde emmundu ekika kya SMG nga batambulira ku Pikipiki nnamba UEH 937H balumba Sam Kalule nebamubbako obukadde bubiri n’ekitundu, Sam yabesimattulako nadduka nakuba enduulu eyasomboola abantu abawerako. Bano bakuba amasasi 6 agalumya abantu basatu omulala omu nafiirawo nga ye Lubinga. Abalumizibwa kuliko Arinaitwe Innocent 41, Suuna Hamza 22, Kalema Bumbakali 47 abaddusibwa mu ddwaliro e Mulago okuweebwa obujanjabi.Basobola okwesimattula ku batuuze nebasuula Piki piki yaabwe okwali ensawo nga mulimu amasasi 6, power bank wamu n’essimu ekika kya Itel.

Leave a Reply