poliisi ekutte abanyaga essimu mu kampala

Poliisi ekutte abavubuka abaanyaze essimu ku Muyindi eyabadde mu mmotoka mu bwangu obw’ekitalo ne bagikwasa omukazi. Abaserikale abaabadde balawuna ekibuga byonna ebyabadde bigenda mu maaso baabadde babiraba ne banguyira abavubuka bano ne babakwata. Baabadde kumpi n’ekizimbe kya Mutaasa Kafeero mu Kampala wakati. Abaakwatiddwa ye; Juma Ssali, Sula Ssemanda ne Moses Mushabe ng’essimu baaginyaze ku Akash Gupta eyabadde ali mu mmotoka.

Akulira ebikwekweto ku poliisi ya CPS, Ivan Nduhura yagambye nti abavubuka bano bagambibwa okubeera mu kibinja ky’ababba amasimu mu mmotoka naddala mu kalippagano k’ebidduka.

Nduhura yagambye nti balina akakodyo ng’omu asooka n’akuba emmotoka n’amaanyi era bw’omaguka okumutunuulira munne n’asikambula essimu n’agitwala nga kibeera kizibu okubakwata olw’obwangu bwe bakozesa.

Yagambye nti abavubuka bano badduse kyokka abaserikale abaabadde balawuna baasobodde okubakwattira mu kizimbe kya Yamaha Centre nga badduka .

Yagambye nti abavubuka bano olwabatuusizza ku CPS, Moses Mushabe n’akkiriza nga bwe yasikambudde essimu n’agiteresa omukazi Mary Kyomuhendo era abaserikale ne bamunoonya essimu n’agitwala ku CPS kyokka n’alemwa okunnyonnyola engeri essimu gye yamuweereddwa.

Yategeezezza nti abavubuka bano be bamu ku babbi ab’olulango abateega abantu ku nguudo ne bababba nga batambulira mu bibinja nga Mushabe yakwatibwako mu 2011ng’anyaze akakuufu ku mukyala.

Leave a Reply