Poliisi ekutte abasajja 3 abakuba aba Boda boda obutayimbwa

Poliisi y’e Katwe ekutte abasajja bakuba aba Boda boda obutayimbwa mu bitundu by’e Katwe n’e Kajjansi. Kino kiddiridde ekibinja ky’ababbi abakuba obutayimbwa okutandika okutigomya abantu mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo.

Bano boogedde obukodyo obw’enjawulo bwebakozesa okubba pikipiki era nga bakolera wamu n’abawala abato abanyirira nga bali mu myaka 20 abapangisa aba boda boda okubatuusa ababbi webabeera okuliraana ebisiko, ebifo ebyesudde abantu wamu n’okumpi n’emotoka ezabuyonjo ezibeera ku mabbali gamakubo zebakoseza okutomera aba Boda boda

Omu ku bakwate kuliko Hassana Bazira Kiyingi nga yeyita Dr. Kinyinyi kigambibwa nti mu May 2015 nga ayambadde ekanzi yapangisa owa Boda boda e Kajjansi bwebatuuka mu kubo namuwa biscuit ne soda ebyalimu kalifoomu eyamusuula eri namubbako pikipiki ye.

Kigambibwa nti ono era nga akozesa akakodyo ke kamu yabba pikipiki e Gomba nga ye ng’ate kuluno nannyini pikipiki yamukuba akatayimbwa namutta. Poliisi mukwongera okukola okunoonyereza yakutte abasajja abalala babiri okuva e Katwe bano nga bebabadde bapangulula pikipiki zino nezifuuka spare nga era bakwatiddwa ne pikipiki 3 nga kuno kuliko Vincent Mwanje ne Charles Kateregga nga bagamba nti Hassan Bazira Kiyingi yeyazibawa.

Abakwatiddwa bakiriza nga bwebakabba pikipiki 37 era nga Kiyingi yabakulira era nga Poliisi yasobodde n’okuzuula pikipiki endala 3 okuli UDS 836B, UDT 571T and UEE 744C.

Leave a Reply