Poliisi n’ebitongole ebirala ebyebyokwerinda byasobodde okununula omwana eyabadde awambiddwa mu Disitulikiti y’e Luwero nga bamuwambye basaba obukadde 7 okumuddiza bazadde be.
Abakwatiddwa bagamba bebamu ku kabinja ka 3 Star gang nga babadde bawambye omwana Amos Matovu eyabadde avudde awaka nga agenda Wobulenzi Taata we gyakolera nga September 6. Abamuwamba bamusaba abawerekereko bamugulire essaawa bweyakiriza nebamukwata ne bamuteeka ku boda boda eyali erinze nebamutwala e Ssekamuli mu Gombolola y’e Bamunanika.
Bwebamala okumuwamba batandika okukubira bazadde be nga babasaba obukadde 7 okumubawa. Abazadde baddukidde ku Poliisi e Luwero nayo eyatandikiddewo omuyiggo n’eggye lya UPDF abakozesezza tekinologiya okunoonya essimu weziri. DPC w’e Luweero Ahmed Musekana agamba nti basobodde okukwata abasatu ababadde bakube essimu wamu n’owokuna eyabadde yatwala omwana e Ssekamuli nga amukwese.