Poliisi ekutte abayizi be Makerere

Uganda Police Force enkya yaleero ekutte omuyizi Nattabi Margaret ng’ono yeyali akwatidde ekibiina kya National Unity Platform bendera mu kalulu ka Guild President wabula naggibwamu ne munne Namwoza Sulaiman nga babavunaana okutuuza ekimeeza. Nattabi ne banne babadde bategese olukiiko lwa Bannamawulire okwogera ku ngeri gyeyagiddwa mu lwokoona gyagamba nti teri mu mateeka.
Ono ne banne bayooleddwa nebatwalibwa ku Poliisi e Wandegeya gyebakuumirwa kati.
Leave a Reply