Poliisi ekutte abenyigira mu bubbi

Poliisi ekutte Hakim Kigozi wamu ne Barius Atwine so nga munaabwe asuubirwa okuba nga yakulira ekikoosi nga y’e Kawooya omutuuze ku Yesu Amala – Nansana yadduse era nga anoonyezebwa nga bano kisuubirwa nti be basajja ab’ebijambiya abalumba Ekkolero e Kabembe nebonoona ebintu saako n’okubba obukadde bw’ensimbi obusoba mu 100.

Wiiki eziyise emabega abasajja abatategerekeka balumba ekkolero lya Crane Roofings Limited erisangibwa e Kyampisi mu Disitulikiti y’e Mukono nebasalasala omukuumi era nebamujjako n’emmundu.

Bano bakwatiddwa nga babagalidde ebijambiya nga babadde bategese olukwe okubba abasima omusenyu mu Lwera. Bano basangiddwa ne ssente empitirivu eziteberezebwa okuba nga zebabba ku Bayindi, essimu ya Iphone wamu n’ekyuuma ekisala ebyuuma.

Poliisi era yakutte Ssejemba omuvuzi wa Bodaboda nnamba UER458F nga kigambibwa nti ono abadde akolagana ne Kawooya nga ono abadde akolagana nnyo nga amuwola ssente era yali amusabye ssente nga alina omulimu gw’agenda okukola mu Lwera era nga bali bategese okusisinkana e Kyengera era nga yakwatibwa tanazimuwa.

Omulala eyakwatiddwa ye Jiingo nga ono mutunzi wa byenyanja, omusenyi nga era brocker wa motoka mu Lwera nga ono yategeezezza Poliisi nti yabadde mu lukwe lw’okubba abasuubuzi b’omusenyu abamaanyi nga bamusuubizza omugabo ku munyago guno kimuyambe okuvunuka obwavu. Abakwatiddwa bakuumirwa ku Poliisi ya Jinja Road.

Leave a Reply