POLIISI EKUTTE BAKIWAGI E KOSOVO;
Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police ASP Luke Owoyesigyire evuddeyo nategeeza nga Poliisi y’e Katwe yakoze ekikwekweto mu kiro ekikeesezza olwaleero oluvannyuma lwokutemezebwako nekwata ekibinja kyabafere ababadde bakolera mu bitundu by’e Masajja, Makindye-Ssaabagabo mu Disitulikiti y’e Wakiso.
Bano babadde bakubira abantu essimu nga babagamba nti bawangudde ebirabo eby’enjawulo oba okubaweereza message za Mobile Money ezitali ntuufu. Bano basikiriza abantu okubaweereza ssente ku Mobile Money.
Ekibinja kyekimu kibadde kimenya amayumba g’abantu nebabba ebintu byo munnyumba era mu kikwekweto kino Poliisi mweyazuulidde ebintu byabantu ebyabbibwa.
Bano basangiddwa ne TV 3, music systems, ejjambiya n’ebyambalo by’amaggye. Era basangiddwa n’enjaga nga babadde baduumirwa Michael Kinalwa, nga yali yafuula Kosovo Zone etayitwamu muntu atali wa mukitundu ekyo.
Poliisi egamba nti emirundi mingi bakubye Poliisi amayinja nga egenze okubakwata. Ku Sunda nga 07/03/2021, ku ssaawa nga munaana balumbye omukyala Nagasha eyabadde avuga emotoka ye nebamubbako ensawo eyabaddemu US$30,000 ne mitwalo 30.
Abantu 9 bebakwatiddwa okuli nabakulira.