Omwogezi wa Poliisi Emillian Kayima avuddeyo nafulumya ekiwandiiko ekikakasa okukwatibwa kw’omubaka Zaake abadde atwalibwa ku kisaawe okugenda okujanjabibwa e India olunaku lwaleero.
Agamba nti Zaake yakwatibwa n’abantu abalala 33 abatwalibwa mu kkooti okuvunaanibwa wabula bwebaali bakyali ku Poliisi Zaake yafunamu embeera eyali emwetaagisa okutwalibwa mu ddwaliro era natwalibwa mu ddwaliro lya Arua Referral Hospital nga akuumibwa Poliisi, wabula bweyatusibwa mu ddwaliro Poliisi yaleka abasawo bakole omulimu gwabwe nga yo ekuuma mulyango.
Mbu Zaake yakozesa omukisa ogwo ye yennyini oba nga ayambibwako abantu abalala natoloka ku Poliisi era nga Poliisi mukukola okunoonyereza kwayo yakizuula nti omusibe eyataloka mu ddwaliro mu Arua yali ali mu ddwaliro e Lubaga Poliisi nesalawo emuleke ajanjabwe wabula nga bwemuketta nga bagoberera ebigambibwa nti yali tanaterera.
Poliisi yagezezaako okwogerezeganya n’eddwaliro ly’e Lubaga mubuwandiike nga esaba Zaake atwalibwe akeberebwe abasawo ba Gavumenti e Mulago nga tanatwalibwa mu kkooti wabula eddwaliro nerigaana.
Enkya yaleero Poliisi esanze Hon. Zaake ku kisaawe k’ennyonyi Entebe nga agezaako okudduka mu ggwanga era nemukwata nga agenda kutwalibwa mu ddwaliro e Mulago okukeberebwa wamu n’okweebwa obujanjabi alyoke atwalibwe mu kkooti.