Poliisi ekutte loole eyatomedde owa booda booda n’omusaabaze e Bwaise

Poliisi evuddeyo netegeeza bweyakutte Ddereeva wa Loole nnamba UBK 994P ne loole negisika eyalabikidde mu katambi nga atomera owa booda booda namulinnya wamu n’omusaabaze we ku nkulungo y’e Bwaise.
Poliisi egamba nti emotoka eno bagikwatidde Buloba, ddereeva oluvannyuma yagiddwa e Buloba natwalibwa e Kawempe.
Omuvuzi wa booda booda nnamba UDG 703Q yafiiriddewo ate ye omusaabaze ali mu mbeera mbi nnyo.
Leave a Reply