Omwogezi wa Uganda Police Force CP Fred Enanga avuddeyo nategeeza nga Poliisi bwekutte omusigansimbi nga Munnansi wa Buyindi nga ye Atul Anad omutuuze we Kisugu Muyenga n’abalala 18 mu kikwekweto kyekoze okufuuza abantu ababba ebyuuma bya masanyalazze okwetoloola Eggwanga lyonna.
Abakwatiddwa bakuggulwako omusango gwakutaataaganya enteekateeka ya Gavumenti ey’okubunyisa amasanyalaze mu Ggwanga. Enanga agamba kino tekikoma kukufiiriza Ggwanga nsimbi wabula kiteeka n’obulamu bwabo abakikola mu matigga.