Uganda Police Force mu Disitulikiti y’e Kayunga yakutte Abantu 23 nga bano basangiddwa besibidde mu Kkanisa yaabwe nga basaba. Ku bano kwabaddeko Abakyala 16 n’Abaami 7 nga basangiddwa bakuba ettendo nga bakulemebeddwamu akulira ekkanisa ya Rivers Poliisi mu district ye Kayunga ekutte abantu abawerera ddala 23 nga bano babasanze besibidde mukanisa yabwe basaba. Bano okubadde abakyala 16 n’abaami 7 kigambibwa nti poliisi ebasaanze bakuba etendo nga bakulemebeddwamu akulira ekkanisa ya Rivers Christian Church lnternational Nabbi Nakalembe Kevina. Wabula Nabbi Nakalembe yavuddeyo nategeeza nti ekyamuwaliriza okukola kino, kyadiridde bangi ku Bagoberezi be okuvaayo nebamuwanjagira nga enjala bwenatera okubatta kale ye kwekusalawo abayite bajje bawanjagire Katonda nga bayita mukusaba asobole okubawa eky’okulya.