Olunaku lw’eggulo Poliisi yo ku CPS mu Kampala yakutte lubona Tumwesigye Gordon 37, nga mutuuze w’e Kawempe mu Kampala ng’ono abadde mubbi wa motoka ow’olulango.
Ono yakwatiddwa ku Constitution Square ng’agezaako okubba emotoka ekika kya Raum nnamba UAW 317R.
Ono okukwatibwa kyadiridde abakola ku kkamera za Poliisi okutandika okumulondoola bweyalabiddwako ng’alinnya Boda Boda okwolekera ekibuga. Mu kumulondoola yalabiddwako nga agezaako okuggulawo emotoka ez’enjawulo ku luguudo era ababadde ku kkamera batemezza mangu ku banaabwe abayanguye nebamukwatira ku Constitutional Square nga agezaako okusimbula emotoka gyeyabadde amaze okuggulawo.
Bweyabuuziddwa yakirizza nti abadde yenyigira mu kubba emotoka nazitwala e DR. Congo.