Omwogezi wa Uganda Police Force SCP Fred Enanga avuddeyo nategeeza nga ekitongole kya Poliisi ekirwanyisa obuzig bw’emmundu ekya Flying Squad wamu nekya Crime Intelligence nga bikolera wamu ne Poliisi y’e Masaka City bwebyakoze ekikweto mu Nyendo – Masaka mwebyakwatidde Katende Ali aka Mao, ngono Senior ADF commander w’ekibinja ekikolera e Nyendo Masaka. Mukufuuza gyabadde abeera basobodde okuzuula; PK Machine gun 1, SMG 7, pistol 1, ne bbomu ku kyalo Kyalugo Village, Bugambira Parish, Nyendo Mukungwe Division mu Masaka City.
Poliisi egamba nti bweyagasse obujulizi kiraga nti Katende yomu ku bantu abalumba Poliisi y’e Busiika nga 31-10-2022 mwebattira abasirikale 3 okwali; D/IP Bagaluka Alex, PC Ongol Moses, ne PC Odama Stephen. Poliisi egamba nti Katende ne banne bebaali emabega w’obulumbaganyi omwafiira abantu babulijjo 2; Kalyango Ibra ne Nsubuga Peter, ku kyalo Kasulayanguwa, Budde Sub County mu Disitulikiti y’e Butambala.
Poliisi egamba nti era yafunye amawulire nebikwata ku ba ADF abalala abatanakwatibwa ababadde bagenzaako okukuba enkambi mu Disitulikiti y’e Wakiso ne Masaka.