Poliisi e Kasangati ekutte Isma Kanoonya ku bigambibwa nti yafera abantu abasoba mu 61 obukadde 271 nga abagamba nga bwali nannyini w’ettaka eriwezaako acre 40 e Busukuma. Abatuuze bagamba nti mu 2015 Kanoonya yabatuukirira nabalaga endagaano gyeyakola wakati we ne nannyini ttaka Patrick Lubowa era n’abategeeza nti yali agenda ku litunda era abasenze bafuneko ebitundu 28 ku 100 nga ezo okubaliyirira, ebitundu 24 ku 100 nga zize nga commission ye nannyini ttaka atwaleko ebitundu 48 ku 100.
Wabula oluvannyuma lw’emyezi mitono yakomawo n’endagaano nga era nti ettaka lino yali aliguze ku Lubowa ku bukadde 800 era nga kati ye nannyini lyo era naleeta abapunta nebawulamu ettaka lino mu Plot eza (50×100) ne (100×100) nabasaba ssente nga abagamba nti yali abagobera ku byapa.
Wabula oluvannyuma yabulawo nga amaze okufuna ssente ku bantu bano nga tabawadde byapa era nga n’essimu ze yazijjako. Nannyini ttaka Lubowa bweyawulira engambo nti ettaka lye lyali litundibwa yaleese ebiwandiiko ebituufu era nabategeeza nti ayagala kukozesa ttaka lye. Abatuuze batabuse nebaddukira ku Poliisi nebatandika okunoonya Kanoonya nebamukwatira mu kibuga bweyabadde agenze okukima obukadde 14 okuva ku mutnu omulala eyabadde ayagala okugula ettaka.