Poliisi ekutte omusajja abadde awawabira abatakisi nti bamubba

Uganda Police Force evuddeyo netegeeza nga bwekutte omusajja Sam Mukooza abadde agufudde omugano nga ogw’enswa okulumiriza aba Takisi nti babba ebintu bye olwo nebamuliyirira.
Mu July 2020, Mukooza yaloopa ku Poliisi nti bamubbako laptop, empale bbiri n’engatto abantu abaali batambulira mu takisi nnamba UAY 255, Poliisi yasitukiramu netandika okuwenja emotoka eno era ddereeva waayo Livingstone Mpagi ne conductor Nuwa Lutaya bakwatibwa. Mukooza yatandikirawo okuteesa nabakwate wamu n’abenganda zaabwe nga abasaba ssente 1,600,000/= wabula nebakiriziganya nebamuwa 350,000 ezamuweebwa nga Poliisi tetegedde.
Poliisi yagenda mu maaso n’omusango era Omuwaabi wa Gavumenti nalagira babatwale mu Kkooti wabula Mukooza neyegayirira Poliisi nga agamba nti omusango yagugyeemu enta kuba bamusasudde.
Ku lunaku olulala Sam Kaja yawaaba nti Takisi nnamba UAL 768U abagirimu bamubba era omusango yagutwala ku Kanyanya Police Station. Ddereeva ne Conductor bakwatibwa wabula nebateeba ku kakalu ka Poliisi.
Wabula Ssentongo bweyali azzeeyo okugoba kubyokumuwa takisi ye eyali ekwatiddwa yali awerekeddwako Mpagi eyekanga omusajja y’omu eyagamba nti bamubba nga ate yawabidde mukwano ggwe wabula nga akyuusizza amannya.
Ono yatemya ku Poliisi netandika okumunoonyerezaako era nekizuula nti abadde akikola ng’omulimu nga era yeyitako James Kakooza nawaaba omusango ku Poliisi y’e Bweyogerere.
Ono akuumirwa ku Poliisi y’e Wandegeya.
Leave a Reply