Abebyokwerinda mu KMP North, Kawempe ne Kasangati olunaku lw’eggulo bakoze ekikwekweto mwebazuulidde ebintu mu maka ga Mukibi Dirisa mu Nammere zone. Mu maka ge basanzeemu ebyuuma by’amasanyalaze okuli; 1134 PIN Insulators R-70 11KV ne 04 pieces of insulator wires.
Mukiibi yakwatiddwa era nawa abasirikale amawulire agagenda okubayamba okukola okunoonyereza ku babba ebyuuma by’amasanyalaze.