Poliisi ekyasazeeko enguudo ezigenda ku kitebe kya NUP ku Kavule

Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine avuddeyo ku mukutu gwe ogwa X nategeeza nga enguudo zonna ezigenda ku kitebe kya NUP ku Kavule bwezasaliddwako Poliisi nti era abebyokwerinda bazzeemu okuyingira ekitebe kyabwe. Kyagulanyi agamba nti abebyokwerinda bamenye buli luggi ku kitebe, nebaggyako yintaneeti wamu ne kkamera enkettabikolwa nga namasanyalaze mu bifo ebimu gagiddwako. Ono ayongeddeko nti tebamanyi kigendererwa kyabano oba nga balina byebateekamu oba byebatwala.
Leave a Reply