Akakiiko akalera eddembe ly’obuntu mu Ggwanga aka Uganda Human Rights Commission – UHRC kavuddeyo nekawo Uganda Police Force amagezi okumenya ebizimbe bya Police Stations ne Police Posts 150 nga biri yegeyege nnyo okubeeramu abantu oba okukolerwamu omulimu ggwonna.
Ku Dzaipi police station, mu Disitulikiti y’e Adjumani, abasirikale tebali kabuyonjo mwebeyambira so nga ku Lotome Police Post mu Disitulikiti y’e Napak omu ku basirikale asula mu ffumbira lya Officer in Charge (OC).