Poliisi eyisizza ebiragiro ku bizimbe n’ebifo awakung’aanira abantu
abangi okwetangira abatujju abaakubye Kenya. Dayirekita w’ekitongole kya
poliisi ekirwanyisa abatujju, Abbas Byakagaba, ye yasoose okuyisa
ebiragiro eri abaduumizi ba Poliisi zonna n’obubinja okubeera
obulindaala.
Yalagidde abaduumizi bonna okusala amagezi okuziba
ebituli mu byokwerinda abatujju bye basobola okuyitamu okukuba Uganda
n’alagira bakolaganire wamu n’ebitongole by’ebyokwerinda ebirala okuli
UPDF, ISO, CMI n’eggye erikuuma Pulezidenti.
Byakagaba yalagidde okuwa obukuumi ku bifo byonna eby’olukale
awakung’aanira abantu abangi, wooteeri, ebifo by’abalambuzi n’ebirala.
Kuno, Poliisi yagasseeko okukuutira bannannyini bifo bino okunyweza
ebyokwerinda nga bakebera buli muntu, emmotoka n’ebintu ebiyingizibwa mu
bifo byabwe.
Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Fred Enanga mu
kiwandiiko kye yaweerezza bannamawulire yagambye nti, ebifo omuli
obutale, ebizimbe by’amaduuka, amabbaala n’ebirala omucakalirwa
biteekeddwa okubeera n’obukuumi obumala.
Enanga yagasseeko nti,
ekyaliwo mu 2010 abatujju lwe baalumba ne batta abantu e Kyaddondo ne
Kabalagala, kyabawa essomo era Uganda ku ssaawa eno, esobodde okwezimba
mu tekinologiya n’ebirala okwetangira abatujju.
Yagasseeko nti,
baayungudde ebibinja by’abakugu okulaba awayinza okubeera ebituli.
Eggulo, buli kifo eky’olukale olwakung’aanira abantu abangi, byabadde mu
kaseera kazibu okuteeka mu nkola ebiragiro by’abakulira ebyokwerinda.
Ku bifo nga Garden City, ebyokwerinda byabadde gguluggulu, mmotoka
zonna, zaabadde zikebererwa walako okuva ku ggeeti we ziyingirira.
Abakuumi, baayongeddwaako okukebera buli mmotoka eyingira n’abantu
abazirimu.
Mu bifo ebirala mu Kampala, poliisi n’amagye baakedde
kulawuna nga bwebawa abakuumi ebiragiro obutakkiriza muntu kuyita ku
miryango nga takebeddwa. Ebifo okuli Pioneer Mall, Acacia Mall, Mukwano
Mall ne Arcade ebyokwerinda byabadde binywezeddwa. Mu bifo okuli akatale
ka Owino, Kisekka, Kikuubo ne paaka, abaserikale baasindikiddwa
okukuuma.