Oluvannyuma lwa bbomu ezatta abantu abali balaba omupiira gw’ekikopo ky’ensi yonna mu 2010 mu Kampala mu bifo ebyenjawulo, Poliisi egamba nti ku mulundi guno eri bulindaala wamu n’ebitongole ebirala eby’ebyokwerinda.
Ebitongole eby’enjawulo muby’okwerinda bitaddewo enteekateeka ez’enjawulo ezinayamba Bannayuganda okunyumirwa obulungi ekikopo ky’omupiira eky’ensi yonna.
Nga ayogerako ne bannamawulire e Naguru ku kitebe kya Poliisi, Omuduumizi wa Kampala Metropolitan CP. Moses Kafeero Kabugo yagambye nti ebitongole byebyokwerinda biri bulindaala okulaba nti buli omu annyumirwa omupiira awatali buzibu bwonna.
Mr. Kafeero yasabye Bannayuganda bonna okubeera obulindaala era n’okufaayo okulaba nti bakuuma bulungi amaka gaabwe, okutegeeza poliisi singa balaba ebitereke ebirekeddwa ettayo, abantu ababeera ennyo ku masimu nga emipiira gigenda mu maaso mu bifo awalabirwa emipiira, abantu abambadde ebi jacket nabalina ensawo ennene ennyo.
SCP David Wasswa, nga ono yakulira ekitongole kya Poliisi ekirwanyisa obutujju yagumiza Bannayuganda nti ekitongole kyakulembera kiri bulindaala era nasaba abantu okukolera awamu ne Poliisi. Yajjukiza abantu ennamba kwebayinza okukuba okuyambibwa; 0800199399, 080019969 ne 999.