Poliisi n’amaggye basazeeko offiisi za Forum for Democratic Change e Rukungiri nga kigambibwa nti Bannakibiina babadde bategese olukiiko okuteesa ku kyebazzaako ku kuggalirwa kwa Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye omutandise w’ekibiina kyabwe era omwana waabwe.
Besigye ne Hajji Obeid Lutale Kamulegeya bakyakuumirwa mu kkomera e Luzira olwa Gavumenti okulwawo okuteekesa mu nkola ensala ya Kkooti Ensukkulumu eyakolebwa nga 31 Jan. Bombi bano bawambirwa mu Ggwanga lya Kenya mu November 2024 nebavunaanibwa emisango okuli okusangibwa nebyokulwanyisa mu ngeri emenya amateeka wamu nogwokulya mu nsi yaabwe olukwe.