Poliisi esse gwebadde etwala ku SID

Omwogezi wa Uganda Police Force CP Fred Enanga; “Ttiimu y’Abebyokwerinda ngekyagenda mu maaso okukola ebikwekweto, olwaleero bwebadde etwala atabeerezebwa okwenyigira mubyobutujju abuuse ku mu motoka ya Poliisi eya Patrol nagezaako okutoloka bwabadde atwalibwa ku SID Kireka.
Abasirikale banukudde nga bakuba amasasi mubbanga nga baagala ayimirire wabula nagaana ekibawalirizza okumukuba amasasi obutereevu. Ekyenaku, ono afudde olw’ebiwundu byamasasi ngafiiridde okuliraana Naguru Remand Home.
Omugenzi ategeerekese nti ye Matovu Adam aka Manihajji 36, nga mutuuze w’e Ttula, Kawempe 1 ward, Kawempe Division.
Leave a Reply