Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police ASP Luke Owoyesigyire; “Ekitongole kya Poliisi ekirwanyisa obubbi obw’emmundu ekya Flying Squad Unit wamu ne Poliisi mu Kampala batandise ekikwekweto okufuuza ababbi b’emotoka.
Emotoka 8 zezakazuulibwa n’abateeberezebwa okuba ababbi 5 bebakakwatibwa.
Ku motoka 8, emotoka 4 zezakafuniibwako ba nnyini zo. Endala 4 zikyali ku kitebe kya CID e Kibuli, nga ku zino 2 teziriiko nnamba. Poliisi ekolera wamu n’ebitongole ebyenjawulo okusobola okuzuula bannanyini zo.
Mukunoonyereza okwakoleddwa emotoka zino zabbibwa mu Kampala n’emiriraano nezitwalibwa mu ppaakingi ezenjawulo e Lugala , Kosovo, Nakulabye ne Nakawuka. Kigambibwa nti bano oluvannyuma bazitunda nnamba oba okuzibangulula nebatunda sipeeya.
Ayongeddeko nti Poliisi etandise nokunoonya abaguzi baazo kuba kizuuliddwa nti bano bazigula nga bakimanyi bulungi nti nzibe.”