Poliisi etandise okukwata booda booda ezikweka ennamba

Ekitongole kya Uganda Police Force ekivunaanyizibwa ku bidduka kitandise ebikwekweto olwaleero ebyokukwata booda booda ng’ennamba zaazo teziri mu bifo wezirabikira. Poliisi egamba nti ebikwekweto byakugendera ddala mu maaso okutuusa nga abagoba ba booda booda bonna batadde ekiragiro kino mu nkola.

Leave a Reply