POLIISI ENOONYEREZA KU BUBBI BWA PIKI PIKI:
Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police ASP Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nti oluvannyuma lw’obubbi bwa booda booda okweyongera mu bitundu by’e Ndejje, Poliisi y’e Katwe yatandise okunoonyereza ku ngeri aba booda booda gyebabibwako Piki Piki mu budde bwa curfew.
Mu ngeri eno emotola yatomedde owa Booda booda eyabadde ku luguudo olwo ddereeva ne banne nebavaamu nebatwala Piki piki nebaleka owa booda booda nga alumiziddwa.
Poliisi y’e Katwe egamba nti yakafuna emisango gino 3.
Bwebabadde banoonyereza ku musango gwa Sadiq Bendo ogwa Piki piki nnamba UFF 092W, emotoka nnamba UAS 492W, egambibwa okuba nga ebadde ekozesebwa ababbi yasangiddwa nga eteereddwa mu parking e Ndejje-Lubugumu olunaku lweggulo.
Poliisi yasinzeeko ekitundu era ebintu ebiwerako omuli ejjambiya wamu nembaawo byasangiddwa mu motoka.
Nannyini parking yatutte Poliisi eri bannanyini b’emotoka beyakutte okuli; Robert Mugisha n’omulala Sam Muyomba. Poliisi bweyakebedde ennyumba yaabwe yasanzeemu ebyuuma bya Piki piki.
Poliisi ekyanoonya abalala bebakolagana nabo.