Omwogezi wa Uganda Police Force CP Fred Enanga avuddeyo nategeeza nga Poliisi mu Kampala Metropolitan Police South ne Gaba bwetandise okunoonyereza ku ngeri Plumber gyekubiddwamu amasimu ekibinja ky’abantu abefudde ba Kkasitoma nebamulagirira ku Lovely Guest House esangibwa e Katoogo LC, Gaba Parish mu Makindye Division mu kisenge ekimu nebamutulugunya okubula okumumiza omusu.
Ekikolwa kino ekyokutulugunya kyakwatiddwa ku katambi nekasaasanyizibwa ku mikutu egyenjawulo. Ebyakanoonyerezebwako biraga nti nga 26.03.2022, ku ssaawa nnya ezookumakya, Njuba Brian 40, nga Plumber omutuuze w’e Lungujja mu Rubaga Division, bamuyita okubaako omulimu gw’amazzi gwakola ekibinja ky’abantu abaali bapangisizza ekisenge nnamba 6 ku Lovely Guest House.
Bweyatuuka bano bamukwata nebamwambula olwo nebatandika okumutulugunya omwali n’okumunyiga ensigo ezawansi nebazisiba omuguwa, nebamusiba sitookisi mu kamwa, bamusiba ne seŋŋenge olwo nebatandika okumutonyezaako ekidomola. Oluvannyuma banyaga essimu ye nebabulawo.