Poliisi eweze abakwata booda booda nga tebali mu Yunifoomu

Omuduumizi wa Poliisi ya Kampala Metropolitan Police, SCP Stephen Tanui, avuddeyo nategeeza nga bwafunye okwemulugunya okuva mu bantu nga bwewaliwo abantu abali mu ngoye ezabulijjo abakwata piki piki nga tebalina buyinza kukikola.
Tanui awadde ebiragiro ebiggya; ebikwekweto byonna ebyokukwata piki piki birina kukolebwa basirikale ba Poliisi abali mu yunifoomu bokka, ekikwekweto kirina kukolebwa nga kikulemberwa basirikale ba Traffic nga bayambibwa abasirikale ba Poliisi abali mu Yunifoomu.
Teri musirikale wa Poliisi okujjako owa Traffic akirizibwa kukwata piki piki. Omuntu yenna ali mu ngoye ezabulijjo anasangibwa ngakwata piki piki wakukwatibwa mbagirawo asimbibwe mu kkooti.
Abavuzi ba piki piki bakubirizibwa obutawaayo piki piki zaabwe eri abantu abatali mu yunifoomu ya Poliisi era bakubirizibwa okutemya ku Poliisi mangu ddala ku bikwekweto ebitali mu mateeka.
Piki piki zonna ezikwatiddwa zirina kukuumirwa ku Uganda Police Force so ssi mu kifo kirala.
Booda booda yonna eyakwatibwa abakulembeze mu Kampala alagidde eddizibwe nannyini yo mbagirawo oba okutwalibwa ku Poliisi amangu ddala.
Leave a Reply