Omwogezi wa Uganda Police Force owettunduttundu lye Kigezi Elly Maate, avuddeyo nategeeza nga bwebatandise omuyiggo gw’Omubaka Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM owa Bufumbira North, John Kamara Nizeyimana, kubigambibwa nti yenyigidde mu kubba obululu ku Busanani polling station mu Disitulikiti y’e Kisoro. Maate agamba nti yadde okulonda kubadde kukkakamu, mubaddemu effujjo ttonotono erikoleddwa abawagizi abamu.