Poliisi eyiiriddwa e Kawempe

Uganda Police Force ekedde kuyiwa basajja baayo abawanvu n’abampi ku Kawempe Muslim Primary School, nga wano Ababaka boludda oluvuganya Gavumenti webasuubirwa okukuba olukiiko okwogerako eri abatuuze ba Kawempe North ku nsonga ez’enjawulo okuli ne y’omubaka waabwe Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Ssegiriinya Muhammad aka Mr Updates ali mu nkomyo.

Leave a Reply