Poliisi eyiiriddwa ku One Love Beach e Busaabala

Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Oluvannyuma lwolunaku lw’eggulo okukola akabaga akamalako omwaka ak’abaana banaffe abattibwa, ababuzibwawo oba bebasiba olwokutuwagira, Gavumenti olwaleero ekedde kuyiwa basajja baayo bwebakitegeddeko nti tuteeseteese akabaga kabanafffe betubadde tukolagana nabo. Bano nga baduumirwa Asiimwe bakedde kuyiwa basajja baabwe ku makya nebakwata abakozi ssaako okukuba omukka ogubalagala mu kifo. Basazeeko ekifo kyonna nebalemesa abantu okuyingira. Bakutte; Saava Peter, Mudenya Samson ne Turyasingura Samson. Bwebabadde babakwata aba JATT ababakutte babakubye babuuza ani gwebawagira mu byobufuzi. Babayise batujju era abamenyi b’amateeka-naye ngomusango gwabwe kukola naffe.”
#ffemmwemmweffe

Leave a Reply