Ebyokwerinda binywezeddwa ku Kitebe kya Democratic Party Uganda ku Sure House mu Kampala Pulezidenti w’ekibiina Norbert Mao wasinzidde okwogerako eri Bannamawulire ku nteseganye zeyalimu ne Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okutuuka okukiriza okukolera awamu ne Gavumenti ya National Resistance Movement – NRM nga Minisita nabiki ebyamubuuziddwa mu Kakiiko ka Palamenti akasunsula abalondeddwa Pulezidenti. Abasirikale ba Uganda Police Force balabiddwako nga balawuna ekitundu kyonna.