Poliisi kyaddaaki efulumizza ekiwandiiko nga kiraga nga ebivvulu byonna ebyategekeddwa Omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu Bobi Wine bwebiwereddwa okubaayo nga nekyenkya ku Easter Monday e Busaabala mwokitwalidde.
Ebbaluwa eteereddwako omukono gwa Director of Operations Asuman Mugyenyi agamba nti emirundi egiwerako mu bivvulu ebiyise Bobi Wine n’abawagizi be balemereddwa okugoberera ebiragiro ebibaweebwa Poliisi omuli; okumenya amateeka g’okunguudo, okufuuka ekizibu eri abatambuze abalala wamu n’ebirala ebitakoma ku kumenya mateeka kyokka wabula n’okuteeka obulamu bwa Bannayuganda mukatyabaga.
Asuman ategeezezza nti olwa Poliisi okwagala okutaasa obulamu bwa Bannayuganda, okukuuma amateeka, eddembe wamu n’ebintu bya Bannayuganda eyimirizza ebivvulu byonna ebyategekeddwa nga bya Bobi Wine Munnakisinde kya People Power Our Power.
Kati biweze ebivvulu 124 okuva mu October 2017 ebya Bobi Wine ebiyimiriziddwa Poliisi.