Abavubuka abasoba mu 20 bebayoleddwa Uganda Police Force mu kikwekweto kyekoze mu kiro ekikeesezza olwaleero nga kigambibwa nti bano babadde batigomya abantu mu bitundu eby’e Kakiri mu Disitulikiti y’e Wakiso. Ekikwekweto kino kyakoleddwa oluvannyuma lwomubbi okumenya emotoka ya Kakiri Police Division Commander, Hassan Mugerwa nabba essimu ye. Ngabakozesa akatambi akagiddwa ku kkamera enkettabikolwa ezobwannanyini Poliisi yasobodde okuzuula omubbi ono era nebamunoonya nebamukwatira mu bitundu by’e Namayumba, oluvannyuma Poliisi nekola ekikwekweto okukwata banne abasangiddwa n’amajjambiya wamu n’ensawo z’enjaga.
#ffemmwemmweffe
Poliisi eyodde 20 e Kakiri oluvannyuma lwokuba essimu ya DPC
