Poliisi eyodde abagamibwa okubba ebyuuma bya Umeme mu Kisenyi

Omwogezi wa Poliisi ya Kampala Metropolitan @Patrick Onyango avuddeyo nategeeza nga Poliisi bweyakoze ekikwekweto oluvannyuma lwokutemezebwako mu bifo ebyenjawulo 3 mweyazuulidda ttani 40 eza angle lines ezikozesebwa mu kuzimba ebikondo ebitambuza amasanyalaze agamaanyi. Bino byagiddwa mu bifo 3 ebyenjawulo okuli; Social center scrap yard mu Muluka gw’e Mengo, Kampala central Division, Nakitende scrap yard mu ku kyalo Budonian, mu Muluka gw’e Mengo Kampala central Division ne Kisenyi scrap dealers opposite Ham building Central zone Kisenyi I. Ekikwekweto kyakoleddwa mu bifo ebiteeberezebwa okuterekebwamu wamu n’okutunda ebintu ebikozesebwa okuzimba ebikondo byamasanyalaze nga kyavudde ku bubbi bwebyuuma ebikola ebikondo bya Umeme okweyongera mu Ggwanga.

Ebintu ebirala ebyazuuliddwa kuliko; ebyuumba ebikozesebwa ku nguudo z’eggaali yomukka, nebikondo byamataala ga Solar nga bino birowoozebwa okubeera ebya KCCA. Abantu 13 bebakwatiddwa mu kikwekweto kino.

Leave a Reply