Uganda Police Force ngerimu ne offiisi ya DPP n’ekitongole ekiramuzi olunaku lweggulo bayokezza ebiragalalagala ebibalirirwamu obukadde 778. Bino byali bizibiti eby’emisango egyamalirizibwa era abakwatibwa nebavunaanibwa nga bano bakwatibwa ku kisaawe ky’ennyonyi Entebe.