Omwogezi wa @Kampala Metropolitan Police Patrick Onyango avuddeyo nategeeza nga abasirikale ba UUganda Police Forcebalubbira nga bakolera wamu n’abatuuze bwebasobodde okunnyulula omulambo gw’omwana ow’emyaka 9 Nanyonga Shanitah eyaggwa mu mwala okumpi n’essomero wabadde asomera. Okusinziira ku Ssenga wa Shanitah, agamba nti yamuwerekerako ku ssomero nti wabula nakomawo awaka okukima pen wabula bweyali addayo ku ssomero naseerera naggwa mu mwala.
Poliisi ezudde omulambo gw’omwana eyagwa mu mwala e Wakiso
