Uganda Police Force
mu Disitulikiti y’e Bushenyi evuddeyo netegeeza nti erina abantu babiri
mu mikono gyayo nga kigambibwa bano bebamu ku kibinja ky’abantu
abalabikira mu katambi nga bakuba omukadde emiggo egibula okumwosa
omuliro. Wabula Poliisi egamba nti omuntu ow’okusatu alabikira mu
katambi nga akuba omukadde amanyiddwa nga Keith anoonyezebwa.
Poliisi egamba nti nga 1-3-2020 ku ssaawa nga kumi nabbiri n’ekitundu mu
Kyakebizi Cell, Central Division mu Ishaka – Bushenyi Municipality
mu Disitulikiti y’e Bushenyi, omukyala eyategeerekese nga Maria
Kyomugisha 66, yasangibwa nakawanga k’ekinnyonyi mu lusuku lwa Lukia
Atwongeire nebakwata nebatandika okumukuba nga bwebakwata akatambi.
Oluvannyuma yatwalibwa ku Poliisi y’e Bushenyi naggulwako omusango gwa
‘Criminal Tresspass’. Akawanga k’ekinnyonyi wamu n’ebyawongo ebirala
byonna bikuumirwa ku Poliisi nga ebizibiti. Wabula omukadde yateebwa ku
kakalu ka Poliisi nga okunoonyereza bwekugenda mu maaso.