Poliisi mu Kampala eyodde abamenyi b’amateeka

Poliisi ya CPS mu Kampala nga Local Defence Unit bakoze ekikwekweto ku Arua Park, Nebbi park, ku mwala gw’e Nakivubo n’ebitundu ebirala nebakwata abalowoozebwa okubeera abamenyi b’amateeka abalulango 94 nga benyigira mu bubbi. Bano basangiddwa n’obwambe, ebyuuma ebikozesebwa okumenya amayumba n’emotoka wamu n’enjaga era nga bakutwalibwa mu Kkooti wiiki ejja.

Leave a Reply