Poliisi mu Kampala n’emiriraano ekutte abamenyi b’amateeka

Poliisi mu Kampala n’emiriraano ekutte abamenyi b’amateeka abasoba mu 1355 mu bikwekweto byekoze okufuuza bakifeesi ku nguudo za Kampala.

Ebikwekweto byakoleddwa omuduumizi wa Kampala n’emiriraano CP. Kafeero kabugo nga ali wamu ne D/ACP. Denis Namuwoza. Ebikwekweto bino byaddiridde okwemulugunya okuva eri abantu ab’enjawulo nga bemulugunya kunguudo ezimu mu bitundu by’omu Kampala ezitakyayitikamu olwa bakifeesi abefudde bereeje. Mubakwatiddwa mulimu abavubuka abakuba abantu obutayimbwa, ababbi mumakubo, kubitaala ne mu Traffic Jam, abakozesa ebiragalalagala, abanyakula obusawo n’abalala.

Mubyazuuliddwa mubikwekweto bino mwabaddemu ensawo, amasimu, enjaga, TV, Radio, Woofers, Master Keys, ebiragalalagala, byebakozesa okumenya amayumba nga ennyondo, obutayimbwa, amajambiya, obwambe, spare w’emotoka, ebikomo n’ebirala bingi.

Ebikwekweto bino byakolebwa mu bitundu nga Katwe Division, Kasangati Division, Old Kampala Division, Jinja Road Division, Mukono Division, Nagalama Division, Kira Road Division, Kira Division, Kakiri Division, Nansana Division, Nsangi Division, Entebbe Division, Kajjansi Division, Kabalagala Division, Wandegeya Division, CPS Kampala Division Kawempe Division ne Wakiso Division.

Ku bano 436 basimbiddwa mu kkooti nabasindikibwa ku meere okutuuka nga 14-July-2018 basalirwe emisango.

Error: Contact form not found.

 

Leave a Reply